Eddagala lya jjajja ; Giigino emigaso 4 gy'ofuna mu muddo gwa Ssezzira




MUSOGA SYLVA,  ajjanjabisa eddagala 

ly’obutonde agamba nti, amaze ebbanga

 ng’akozesa ssezzira mu bujjanjabi obw’enjawulo omuli:

1. Okuyamba mu kuwagala obwongo eri abakulu n’abato. Agamba nti, bw’omukozesa totera kwerabiralabira era obwongo bukwata mangu.
2. Ate ggwe atawaanyizibwa puleesa mwekwate kuba akkakkanya puleesa eya wansi n’eya waggulu.
3. Ayambako okuziyiza endwadde zonna omuli ne kookolo.
4. Atereeza olususu olufuukuuse n’okwongera amazzi mu mubiri.
5. Ayambako okuleeta essanyu ly’amaka.

 

ENKOZESA YA SSEZZIRA
Osobola okumusalaasala n’omugatta mu nva endiirwa nga doodo, ejjobyo, nnakati n’ebirala n’ofumba kyokka nga tosiise wabula ossaamu birungo nga ennyaanya n’obutungulu. l Osobola okumutokosa n’onywa amazzi. Osobola okukamulamu omubisi era n’onywa byonna bikola kye kimu.

Comments

Popular posts from this blog

UMUHANZI DANY NANONE ARASHINJWA KWIBA UMWANA YABYARANYE NA BUSANDI

NYANZA : UMUGABO YAGUYE GITUMO UMUGOREWE ARYAMANYE NUMUSORE

UMWE MUBARINDA PARIKE YA NYUNGWE BAMUTEMYE